Omuyimbi Alien Skin aliira ku nsiko
Poliisi e Katwe, etandiise okunoonyereza ku kyavuddeko Namuwaya Wilfred amanyikiddwa nga Top Dancer okufa.
Okunoonyereza kulaga nti ku Ssande nga 20, September, 2025, Namuwaya yagibwa mu makaage e Ndeeba ne bamutwala mu Fangone Forest mu zzooni ya Kizungu e Luwafu, Makindye.
Abantu abamutwala, baali bakulembeddwamu, ategerekeseeko erya Musomali agambibwa nti Fangone Forest.
Kigambibwa nga batuuse mu Fangone Forest, Mulwana Patrick amanyikiddwa ng’omuyimbi Alien Skin, mbu yalagira abantu okuzaamu Namuwaya empisa olw’okuva mu Fangone Forest.
Kigambibwa oluvanyuma lw’okukubwa, bamusuula mu zzooni y’e Mpomba, oluvanyuma ne bamutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, gye yafiiridde olunnaku olw’eggulo.
Mu kiseera kino, Poliisi egamba nti eri mu kunoonya abantu ab’enjawulo omuli
– Alien Skin
– Commander Mdogo
– Ibra Kabadiya
– Mijagulo
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka, okukwata abantu abo – https://www.youtube.com/watch?v=YolFbiHutjI&t=131s