Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yasunsuddwa, okuddamu okuvuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda omulundi ogwokubiri.
Emikolo gy’okusunsula gy’abadde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda e Lweza mu Wakiso era Bobi Wine olwavudde e Lweza, yagenda Nateete okwogerako eri abawagizi be.
Tukuleetedde essanyu n’omukwano ogw’abadde e Nateete.

Bingi ebiri mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=66s