Pulezidenti w’eggwanga erya Madagascar, Andry Rajoelina akooye ejjoogo ly’abavubuka, alonze Gen Ruphin Fortunat Zafisambo nga ssaabaminisita w’eggwanga.
Mu ggwanga lyonna, abavubuka bazze nga bekalakaasa nga bagamba nti bakooye obukulembeze bwa Rajoelina kuba alemeddwa okukola ku nsonga zaabwe omuli
– Okulwanyisa ebbula ly’emirimu
– Okukola ku nsonga y’ebyenfuna
– Okulwanyisa obuli bw’enguzi
– Ebintu okweyongera okulinnya ebbeeyi
– Okutyoboola eddembe ly’obuntu.
Kigambibwa Pulezidenti Rajoelina abadde alina okutya nti amaggye gayinza okuwamba obukulembeze bwe era kigambibwa y’emu ku nsonga alonze Gen Ruphin Fortunat Zafisambo okwongera okukuuma obuyinza.

Wadde akoze byonna, abavubuka mu ggwanga eryo, wansi w’ekisinde kyabwe Gen Z Mada, bagamba nti bakooye obukulembeze bwe era bagamba nti bawadde Pulezidenti Rajoelina essaawa 48 zokka ng’avudde mu ntebe.
Abavubuka bagamba nti singa Pulezidenti Rajoelina asigala mu buyinza, embeera egenda kweyongera kwonooneka.
Wiiki ewedde Pulezidenti Rajoelina yagobye ssaabaminisita Christian Ntsay ne Kabinenti yonna nga yabadde agezaako okuwa abavubuka essanyu, okukomya okwekalakaasa.
Gen Zafisambo yabadde akulira ensonga z’amaggye mu Kabinenti okutuusa Pulezidenti bw’amulonze okutwala ekifo kya Ssaabaminisita w’eggwanga.
Wiiki ewedde, ekitongole ky’amawanga amagate ekya UN kyafulumya alipoota mbu abantu 22 baali battiddwa mu kwekalakaasa ate abasukka mu 100 bali mu makkomera wabula Gavumenti egamba nti alipoota ya UN yabulimba nga temuli wadde ekituufu – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU&t=492s