Abasawo abakugu, abegatira mu kibiina kyabwe ekya Allied Health Professionals Council (AHPC), basabye bannayuganda okuvaayo, okulwanyisa ekya basawo, abegumbulidde okwebulankana mu malwaliro ag’enjawulo.

Abasawo bano, bagamba nti ekya basawo okwebulankanya musango nga singa abalwadde bavaayo, bangi basobola okwatibwa ne bavunaanibwa emisango omuli n’okubagoba ku mirimu.

Bano, okubyogera, nga bategekera okukuza olunnaku lwabwe olwa ‘Allied Health Professionals Council’ Day mu kibuga Lira, wiiki ejja ku Lwokubiri nga 14, October, 2025 wansi w’omulamwa, ‘okwegatta g’emaanyi ku lw’ebyobulamu ebirungi’.

Nga basinzira ku Hotero Africana mu Kampala enkya ya leero, Dr Bernard Bagala – amyuka Omuwandiisi w’ekibiina kyabwe, alambuludde ku nsonga z’abasawo era agamba nti abalwadde basobola okweyambisa abakulembeze mu bitundu byabwe omuli ba RDC, abatwala abakozi ku disitulikiti n’abalala, okutwalayo okwemulugunya kwabwe kwonna ku nsonga y’abasawo, okwebulankanya ku mirimu gyabwe.

Prof John Charles Okiria, Ssentebe wa Allied Health Professionals Council, agamba nti emirimu gyabwe kuliko

– Okukola amateeka

– Okulondoola n’okutendekebwa kw’abasawo.

Prof John Charles Okiria, Ssentebe wa AHPC

Prof Okiria agamba nti bakola n’omulimu gw’okuwa abasawo layisinsi, ezibakkiriza okutambuza emirimu mu ggwanga lino.

Agamba nti 14, October, 2025, gugenda kuba omulundi ogusoose, okutekateeka olunnaku lwabwe.

Prof Okiria agamba nti bagenda kweyambisa olunnaku olwo, okwongera okuteeka amaanyi mu kutumbula obumu, mu ntambuza y’emirimu – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=69s