Omusirikale wa Poliisi Nsiima Clive Barigye myaka 34, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 16, October, 2025.

Nsiima nga mutuuze we Kyanja, e Nakawa mu Kampala aguddwako emisango egy’enjawulo, bw’asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi wa kkooti esookerwako Nicholas Aiso ku City Hall mu Kampala.

Okunoonyereza kulaga nti wiiki ewedde ku Lwokubiri nga 7, October, 2025, bwe yali Shell e Kyanja mu ‘Supermarket’ mu Kampala, yakuba era nalumya omuwala Atuhumuriize Pellan ssaako n’okwonoona essimu ye ekika kya Infinix Hot 10 nga ya Blue.

Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Mercy Yamangusho lugamba nti Nsiima, yali alina kuwa bukuumi eri omuwala ate yakuba mukube, ekintu ekimenya amateeka era y’emu ku nsonga lwaki bawakanyiza eky’okumuyimbula.

Wabula Nsiima ng’akulembeddwamu munnamateeka Hamza Kyamanywa, yegaanye emisango gyonna. Omulamuzi Aiso asuubiza okweyambisa olunnaku olwo nga 16, October, 2025, okuwa ensala ye – https://www.youtube.com/watch?v=_KIssLpgC-s

Bya Nalule Aminah