Omusirikale wa Poliisi Nsiima Clive Barigye myaka 34, ayimbuddwa kakalu ka kkooti enkya ya leero.
Mu maaso g’omulamuzi Nicholas Aiso ku City Hall mu Kampala, Nsiima ayimbuddwa, kakalu ka kkooti, akakadde kamu ate abamweyimiridde okuli
Mushabe Daniel – Kojjaawe
Iguma Mark – Muganda we
Nkwasi Cissy – Mwanyina, basabiddwa ssente obukadde 5 buli omu, ezitali za buliwo.
Omulamuzi amulagidde okudda mu kkooti nga 6, November, 2025.

Okunoonyereza kulaga nti ku Lwokubiri nga 7, October, 2025, Nsiima bwe yali Shell e Kyanja mu ‘Supermarket’ mu Kampala, yakuba era nalumya omuwala Atuhumuriize Pellan ssaako n’okwonoona essimu ye ekika kya Infinix Hot 10 nga yali ya Blue.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Mercy Yamangusho, lugamba nti kiswaza omusirikale alina okuwa obukuumi, ate okudda ku muntu okutulugunya – https://www.youtube.com/watch?v=dmC2fI7EuvQ