Alex Waiswa Mufumbiro, enkya ya leero, asimbiddwa mu kkooti e Nakawa, mu maaso g’omulamuzi Frank Nahamya ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.
Kigambibwa emisango yagizza nga 4, September, 2025 bwe yalagira abawagizi ba National Unity Platform (NUP) okulumba okutemula omusirikale mu kitongole ky’obwannanyini.
Mu kkooti, yegaanye emisango gyonna era bwatyo azziddwa e Luzira okutuusa nga 6, November, 2025 nga ne Poliisi bw’ekola okunoonyereza.
Ate mu kkooti e Kawempe, omulamuzi ali mu misango gyabwe Damalie Agumaasiimwe talabiseeko mu kkooti.
Mu kkooti, Achileo Kivumbi ne Edward Ssebuufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, basabye omulamuzi Steven Waidhuuba bayimbulwe, oluvanyuma lw’okumala ku limanda ennaku 68 nga tewali kuwozesebwa okuva nga 14th/ August 2025 lwe baasimbibwa mu kkooti omulundi ogwasooka.
Okusinzira ku bannamateeka baabwe okuli Samuel Muyiizi Mulindwa ne Kato Tumusiime, bagamba nti amateeka gagamba nti omuntu yenna singa amala ku limanda ennaku 60 nga tali ku misango gya naggomola, alina kuyimbulwa.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Sharon Nambuya ne Bruce Twongirwe, bawakanyiza eky’okuyimbulwa kuba singa emisango gibasinga, bayinza okusibwa emyaka 7.
Wabula omulamuzi alangiridde nga 29, October, 2025 – https://www.youtube.com/watch?v=6SlgfhNSSQY&t=3s