Namukadde Paul Biya, myaka 92 azzeemu okuwangula obukulembeze bw’eggwanga erya Cameroon, ekisanja ekyomunaana (8)

Paul Biya, nga yakwata obuyinza mu 1982, awangudde ekisanja ekirala kya myaka 7, ekigenda okugwako mu 2032 nga mu kiseera ekyo, Paul Biya, aliba aweza emyaka 99.

Okusinzira ku birangiriddwa akakiiko ka ‘Constitutional Council’ Paul Biya afunye ebitundu 53.66% ate Issa Tchrioma Bakary abadde akulembeddemu oludda oluvuganya, afunye obululu ebitundu 35.19%.

Wadde akalulu kabadde wakati wa Paul Biya ne Bakary, akalulu kabaddemu abantu 10 era Biya awangudde abantu 9.

Bannansi, balonda nga 12, October, 2025 era bannansi abaalonda baali ebitundu 58 ku 100.

Wadde Biya alangiriddwa, okutya kweyongedde mu ggwanga erya Cameroon lyonna, olw’abawagizi ba Issa Tchrioma Bakary, okuwakanya ebivudde mu kulonda.

Mu kiseera kino amassomero, amaduuka n’emirimu emirala gigaddwa n’okusingira ddala mu kibuga Yaoundé ate Poliisi n’amaggye, beyongedde obungi mu kibuga, okunyweza ebyokwerinda, okutangira embeera yonna eyinza okuddako – https://www.youtube.com/watch?v=_KIssLpgC-s&t=2s