Taata w’omugenzi Sophie Kirabo abotodde ekyama ekyavuddeko muwala we okufa ku myaka emito.
Sophie Kirabo yabadde direkita wa 3hunnies restaurant e Munyonyo mu bitundu bye Makindye nga yafudde wiiki ewedde era yaziikiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu maka g’omugenzi Katende e Kayabwe.
Mu kuziika, taata yagambye nti muwala we yabadde yakadda okuva e Dubia wabula yakomawo ng’omutwe gumuluma nnyo, ne bamutwala mu ddwaaliro e Kisubi.
Taata agamba nti kituufu muwala we abadde mulwadde wa Alusa wabula bagenda kutuuka mu ddwaaliro, ng’afunye obuzibu bw’okussa.
Agamba nti mu ddakika ntono ng’ali mu ddwaaliro e Kisubi, Kirabo baamusa ku byuma, okusobola okussa obulungi.
Mu ddwaaliro, oluvanyuma yasindikibwa mu kasenge kabayi (ICU) ng’ali mu mbeera mbi.
Ng’ali mu ICU, embeera yeyongera okuba obubi era bagenda okumwekebejja, ng’emu ku nsigo ate ndwadde era amangu ddala ne bamutwala mu ddwaaliro lya Medipal mu Kampala, okufuna ekyuma ekiyinza okusengejja ensigo ye.
Nga batuuse mu ddwaaliro lya Medipal, mu kiseera ng’ali ku kyuma, Kirabo yeyongera okuba mu mbeera mbi nga balina okumutwala mu ddwaaliro e Mulago okutuusa lwe yafudde – https://www.youtube.com/watch?v=eJwUcEMxabg
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.

