Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga erya Cameroon Paul Atanga Nji, alabudde omukulembeze w’oludda oluvuganya Issa Tchiroma Bakary nti essaawa yonna bayinza okumutwala mu kkooti ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu, oluvanyuma lw’okulangirira ebyavudde mu kulonda.

Nga 12, October, 2025, bannansi balonda omukulembeze waabwe mu ggwanga erya Cameroon era ku Mmande nga 27, October, 2025, Paul Biya yalangiriddwa ku bwa Pulezidenti nga yafunye ebitundu 53.7% ate Tchiroma Bakary yafunye ebitundu 35.2%.
Wabula oluvanyuma lw’okulangirira Biya, Tchiroma Bakary yawakanyiza ebyavudde mu kulonda era okuva ku Mmande, abantu 4 bebakattibwa okusinzira ku Gavumenti.
Paul Biya ku myaka 92, abadde Pulezidenti wa Cameroon okuva mu 1982 era yazeemu okuweebwa ekisanja kya myaka 7.

Kati no, Minisita Nji agamba nti Tchiroma Bakary yakunze abantu okudda ku nguudo nga y’emu ku nsonga lwaki bangi kati bafu.
Bbo bangi ku bannansi bagamba nti Paul Biya talina kipya, kyagenda kuyamba nsi kuba mulwadde ate bangi ku bannansi tebalina mirimu, ebyenfuna kati bifu nnyo n’ebizibu ebirala bingi nnyo.

