Agava mu ggwanga erya Sudan, galaga nti ab’ekibiina kya bayekera ekya Rapid Support Forces (RSF) kyongedde okutta abantu.
Kigambibwa balumbye eddwaaliro ekkulu erya el-Fasher oluvanyuma lw’okuwamba ekibuga ne batta abalwadde, okusinzira ku kibiina kya mawanga amagatte ekirondoola ebyobulamu.
Abasawo bagamba nti abantu 460 battiddwa aba RSF omuli abalwadde, abajanjabi na buli muntu yenna eyasangiddwa ku ddwaaliro ng’abamu bakubiddwa amasasi ate abalala batemeddwa amajambiya.

Mungeri y’emu bagamba nti abasawo 6 bawambiddwa nga mu kiseera kino basaba ssente $150,000 (£114,000) okuyimbulwa.
Abayekera ba RSF, bakulemberwa Abdul Rahim Hamdan Dagalo Musa era agamba nti alina okukwata obuyinza mu ggwanga lya Sudan.
Mu kiseera kino ekibuga Darfur, kiri wansi w’abayekera ba RSF oluvanyuma lw’okukiwamba ku Sande.
Okuva mu April, 2023, olutalo mu ggwanga erya Sudan, luviiriddeko abantu bangi nnyo okudduka mu nsi, bangi battiddwa ssaako n’okubundabuunda kweyongedde.
Kigambibwa abantu abali mu 250,000 bakwamidde mu kibuga Darfur era waliwo okutya nti bayinza okuttibwa – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=28
SOURCE – BBC AFRICA

