Wuuno omwana enzalwa ya Uganda, Zohran Kwame Mamdani asobodde okuwangula obwa meeya bw’ekibuga New York mu America ku kaadi ya Democratic Party (DP).
Zohran Kwame Mamdani yazaalibwa nga 18, October, 1991 (myaka 34) wano mu Uganda mu kibuga Kampala.
Mamdani, mutabani wa Mahmood Mamdani n’omukyala Mira Nair, ‘Producer’ wa Film mu ggwanga lya America mu kibuga New York.
Yazaalibwa mu Uganda, oluvanyuma ne bamutwala e South Africa wabula ku myaka 7 ne bamwongerayo mu America mu kibuga New York City.

Yafuna Diguli mu Africana studies ku Bowdoin College.
Abadde Kansala ku nsonga za Famire era abadde muyimbi wa hip-hop nga tannaba kuyingira byabufuzi.
Mu 2024, Mamdani yalangirira nga bw’agenda okwesimbawo ku bwa Meeya bwa New York City.
Mu Kampeni ze, okuwangula akamyufu mu June, 2025, yali ku nsonga eziwerako omuli
– Ebyentambula eby’olukale eby’obwereere mu kibuga
– Okuyamba abaana abato okutuusa ku myaka 18
– Okuteeka ekkomo ku ssente z’enju ezipangisibwa mu kibuga
– N’okuzimba enju z’abantu, bamufuna mpola.

Mu Kampeyini, yafuna abantu ab’enjawulo abavaayo okumuwagira mu lwatu omuli
– Bernie Sanders n’abalala.
Mu kamyufu k’ekibiina ki DP, Mamdani yasobola okumega munnabyabufuzi omugundiivu Andrew Mark Cuomo eyaliko Gavana wa New York okuva 2011 okutuusa lwe yalekulira mu 2021.

Mamdani ku myaka 34 kati ayingidde mu byafaayo
– Omusiraamu asoose okulondebwa ku bwa meeya bw’ekibuga New York
– Omuyindi- Mumerica asoose mu kifo ekyo
– Gen Y (Millennial) asoose mu byafaayo.
Okuwangula kwe, asobodde okumegga Andrew Mark Cuomo abadde yesimbyewo nga talina kibiina – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=30s

