Kaminsona wa Palamenti era omubaka wa Bukooli Central, Solomon Silwany, awanjagidde akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi okukomya okwenyigira mu kunywa enjaga.
Silwany agamba nti kiswaza omukulembeze nga Ssenyonyi, okudda mu kunoonya butaala n’okutambuza ebigambo eby’obulimba mu bannansi.
Silwany okuvaamu ebigambo, kidiridde Ssenyonyi, okutegeeza eggwanga nti Bakaminsona ba Palamenti bonna 4, okuli
Silwany
Prossy Mbabazi Akampurira
Esther Afoyochan
Mathias Mpuuga, bazzeemu ne baweebwa ssente obukadde 400 buli omu nga zayisiddwa mu SACCO ya Palamenti.
Silwany, agamba nti kiswaza abantu nga Ssenyonyi, omukulembeze okutambuza ebigambo by’obulimba. Agamba nti Ssenyonyi ne banne okwenyigira mu kunywa enjaga, y’emu ku nsonga lwaki, beyongedde okuswaza eggwanga.

Ate ssentebe wa SACCO ya Palamenti era omubaka we Buvuma, Robert Ndugwa Migadde agamba nti ebyogerwa nti ssente zayisiddwa mu SACCO ya Palamenti byabulimba.
Omwogezi wa Palamenti, Chris Obore Ariko agamba nti ebigambo bya Ssenyonyi, bigendereddwamu okusiiga Palamenti enziro kuba kikyamu okugamba nti waliwo abakulembeze, abaafunye ssente obukadde 400 obwa kasiimo (service Award) – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=30s

