Omulamuzi wa kkooti enkulu Emmanuel Baguma, enkya ya leero, lwasuubirwa okuwa ensala ye oba akkiriza okusindika ensonga za Dr Kizza Besigye mu kkooti ya sseemateeka oba nedda.

Besigye, akyawanakya omulamuzi Baguma okusigala misango gye egy’okulya mu nsi olukwe, ne munne ne Hajji Obeid Lutale ng’alimu kyekubiri, era nga, baddukira ddala mu kakiiko akavunaanyizibwa ku balamuzi mu ggwanga aka Judicial Service Commission.

Kinnajjukirwa nti nga 15, October, 2025, omulamuzi Baguma yategeeza Besigye, nti mu kkooti mwali, erina obuyinza okuwuliriza emisango gyonna gyaliko.

Dr Kizza

Mungeri y’emu yamutegeeza nti yalemwa okuleeta obujjulizi obulaga nti singa asigala mu kkooti y’emu, mu maaso g’omulamuzi y’emu (Baguma), ayinza okulemwa okufuna obwenkanya.

Omulamuzi Baguma yaddamu okuteeza Besigye nti okuddukira mu kakiiko akatwala abalamuzi, tekigaana misango, kugenda mu maaso.

Wabula Bannamateeka ba Besigye, nga bakulembeddwamu omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, bakyebuuza lwaki omulamuzi Baguma, alemedde mu nsonga za Besigye.

Ate amyuka omwogezi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Alex Waiswa Mufumbiro, enkya ya leero akomezebwawo mu maaso g’omulamuzi Frank Nahamya owa kkooti esookerwako e Nakawa ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.

Alex Waiswa Mufumbiro

Kigambibwa emisango yagizza nga 4, September, 2025 bwe yalagira abawagizi ba NUP okulumba okutemula omusirikale mu kitongole ky’obwannanyini mu Kampala.

Mu kkooti nga 22, October, 2025, Mufumbiro yegaana emisango gyonna mu kiseera ng’oludda oluwaabi, lukyanoonyereza.

Omulamuzi, yamuzza ku limanda mu kkomera e Luzira, okutuusa enkya ya leero, lw’agenda okuddamu ogasimbagana n’omulamuzi – https://www.youtube.com/watch?v=rdT6EPPYQ8k