Poliisi y’e Busoga East ekutte abantu 5 ku misango gy’okuwamba n’okutta omwana omuto myaka 6.

Omwana Taaka Loy yawambibwa nga 1, November, 2025 ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi, abawambi ne basaba ssente obukadde 50 okuva eri Okello Moses amanyikiddwa nga Otori abadde alabirira omwana ku kyalo Buwembula mu ggoombolola y’e Materere mu disitulikiti y’e Bugiri.

Wadde baludde nga basaba ensimbi, Poliisi wekwatidde abantu 5 omuli

– Waiswa Allan – alina oluganda ku Okello

– Baliraine Geoffrey

– Osogoli Umar

– Mulondo Isaac

Phiona, ng’omwana yattibwa dda ne bamuziika ne bamuziika emanju w’ennyumba ya Waiswa Allan mu nimiro y’obumonde.

Poliisi ebadde ekulembeddwamu addumira Poliisi mu kitundu ekyo SSP Kyeyune Edrisa, basobodde okusima ekinya, ne bazuula omulambo, nga gutandiise okuvunda, ekitabudde abatuuze.

ASP Kasadha Micheal, omwogezi wa Poliisi e Busoga East, agamba nti bonna abakwate abali ku kitebe kya Poliisi e Bugiri nga n’omulambo, gukyali mu ddwaaliro ekkulu e Bugiri, okwekebejjebwa – https://www.youtube.com/watch?v=tAQlFUG0w4k