Poliisi e Kabale ekutte omusajja ku by’okusobya ku nnyina amuzaalira ddala ali mu gy’obukulu 77.

Justus Byamukama myaka 29 yakwattiddwa nga mutuuze ku kyalo Katenga mu ggombolola y’e Kamuganguzi mu disitulikiti y’e Kabale.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Byamukama yabadde anywedde enjaga, yasangirizza nnyina ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, ekikeseza leero.

Amangu ddala, yamusuubiza okumutta, kwekumutwala mu nsiko okumpi n’awaka yamusobyako.

Oluvanyuma Byabakama yadduse ate omukadde kwekutegeeza ku bakulembeze ku kyalo, abakedde okusamba ensiko okunoonya Byabakama.

Akawungeezi ka leero akwattiddwa era ku Poliisi e Kabale aguddwako emisango 2 omuli okusobya nnyina.