Entiisa n’ekiyongobero bibuutikidde abatuuze b’e Kyankwanzi, omutemu ategerekeseeko nga Twagirayezu Emmanuel munnansi wa Rwanda bw’asse abaana 3 ssaako n’okulumya abantu 8 enkya ya leero ku kyalo Kagarama mu Tawuni Kanso y’e Butemba.
Okusinzira ku batuuze, Twagirayezu alumbye amaka ga mutuuze munaabwe Alfred Mushaba ng’akutte ejjambiya ng’atematema buli muntu amusala mu maaso.
Omwana attiddwa awaka kuliko Tayebwa Joel myaka 4.
Oluvanyuma, alumbye abakyala mu nimiro mu ssamba lya Kasooli okubatta wabula abakyala badduse kwekutta abaana 2 okuli Nakisindi Nora myaka 3 ne Nisiima Joel myezi 9.
Omutemu Twagirayezu ku kyalo ekyo, abadde yapangisaako ettaka okuva ku mutuuze Kalfred Mushabe okulima kasooli era abadde yazimbako akayumba mwabadde asula.
Abatuuze bagamba nti, tewali mpalana emanyikiddwa wakati w’omutemu ssaako n’abantu bakozeeko obulumbaganyi kyokka mu kiseera kino aliira ku nsiko.
Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine, abantu 8 abatuusiddwako obulabe batwaliddwa malwaliro okuli Butemba health centre 3 n’eddwaaliro ekkulu e Hoima okufuna obujanjabi.
Twine agumizza abatuuze ku nsonga y’okunoonya omutemu Twagirayezu nga singa akwattibwa, wakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’obutemu.