Poliisi y’oku Kaleerwe ekutte omusawo ku misango gy’okuyambako omuwala omuto ali mu gy’obukulu 17 okuggyamu olubuto.

Omusawo Juscent Namugumya 29 omutuuze mu zzooni y’e Ssebina yakwattiddwa oluvanyuma lw’okuggyamu olubuto lwa Faridah Rukundo.

Ku Poliisi, Rukundo agamba nti yava Gulu okujja e Kampala gye yafunidde omulenzi gwamanyiko erya Gerald kyokka yadduse, oluvanyuma lw’okukitegeera nti omuwala yafunye olubuto.

Mungeri y’emu agambye nti yagenze ew’omusawo Namugumya n’amusaba ssente emitwalo 40,000/- n’amuwa amakerenda okuggyamu olubuto era n’amulagira agamu agateeka wansi w’olulimi ate amalala mu bitundu bye eby’ekyama.

Omusawo Namugumya ng’atuuse ku Poliisi, yakkirizza omusango kyokka oluvanyuma agambye nti omuwala yatuuse ku ddwaaliro nga yagyemu dda olubuto kwe kumuwa obukereenda okutangira omusaayi okumugwamu.

Paul Kibuuka, akulira ebyokwerinda e Makerere, agambye nti abaana abawala basukkiridde okuggyamu embutto nga mu kitundu kye,  bazze bazuula abaana abaggyiddwamu nga basuuliddwa n’okusingira ddala Kasasiro wabula Poliisi ensonga zonna, etandiise okuzinoonyerezaako.