Poliisi ekutte Omulenzi ku by’okusobya ku mwana omuto ku kyalo Naluwerere mu disitulikiti y’e Bugiri.
Mugoya Adam ali mu gy’obuku 17 yakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 3 era omwana yatwaliddwa mu ddwaaliro nga yenna atonnya musaayi mu bitundu by’ekyama.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Mugoya, omwana yamututte mu nsiko, okumusobyako.
Enanga agamba nti abazadde basukkiridde obulagajjavu, ekivuddeko ebikolwa eby’okusobya ku baana abato okweyongera mu ggwanga.
Mu Uganda, abaana abasukka mu 10 basobezebwako buli sabiti kyokka abamu ku bazadde basirikira ensonga olw’abasajja okubawa obusente.
Eddoboozi lya Enanga