Omuwala munnansi wa Kenya Tanasha Donna Oketch alaze nti yakoowa embeera embi era wadde talina musajja amanyikiddwa mu kiseera kino, ategeera kye bayita okulya obulamu.
Ku ntandiikwa y’omwaka 2020, Tanasha yayawukana ne bba omuyimbi munnansi wa Tanzania Diamond Platnumz oluvanyuma lw’okumuzaalira omwana omulenzi.


Tanasha yategeeza nti, Platnumz yali asukkiridde obwenzi n’okumuwebuula kwe kumwesonyiwa nga Zari Hassan bwe yakola wadde yali amuzaalidde abaana babiri (2).

Oluvanyuma Tanasha okwesonyiwa waaya ya Platnumz, alaze nti obulamu butambula bulungi ddala era buli lunnaku teyejjusa.
Tanasha agamba nti omuntu okufuna emirembe kye ky’obugagga ekisinga ku nsi, “There is no greater wealth in this world than peace of mind“.

Mungeri y’emu Tanasha alese abasajja waaya zitabukidde ku miryango gya zzipu bwe yekubisizza ekifaananyi ng’ali mu mazzi mu ngeri y’okulumya.

Agamba nti enkyukakyuka y’ebire mu bbanga kye kimu ku kintu ekimuwa essanyu mu bulamu bwe, “Forever that girl who gets excited when the sky is in pretty colors“.
Ebigambo bye, biraga nti ebya Platnumz yabivaako dda aliwo kutambuza bulamu.