Bya Nalule Aminah

Poliisi mu Kampala ekutte Dr. Stella Nyanzi eyaliko omusomesa ku yunivasite e Makerere n’abamu ku basuubuzi mu Kampala abakedde okwekalakaasa nga baagala gavumenti eggule ebizimbe kwebakolera.

Mu kwekalakaasa  bawadde nsalesale wa nnaku 5 zokka nga Akeedi zigguddwa oba sikyo bakukunga bannabwe bakolewo akatiisa.

Nyanzi abadde n’ab’ekibiina ekitaba abasuubuzi abakolera mu akeedi ekya Kampala Arcade and Traders’ Association (KATA) nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Godfrey Katongole.

Ssentebbe Katongole agamba nti mu nnaku 5 singa ziggwako nga tebaguddwawo, bakuunga abasuubuuzi mu Kampala okuvaayo okusaba eddembe lyabwe, okubakkiriza okuddamu okutambuza emirimu gyabwe.

Nyanzi ne banne babakwattidde ku Biraj International Hotel okumpi ne Capital Shoppers era bonna abakwattiddwa, batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.