Palamenti ekangudde ku ddoboozi esabye Gavumenti okulowooza eky’okuggula amasinzizo n’okuwa abakulembera amaddini, obukwakulizo ku ngeri y’okwetangira Covid-19.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yaggala amasinzizo mu Gwokusatu ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 wabula bannaddiini, bagamba nti basobola bulungi nnyo okuteekawo embeera ey’okutangira obulwadde okusasaana.
Akawungeezi ka leero, mu Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika Rebecca Kadaga, omubaka omukyala owe Kumi, Monica Amoding, agambye nti amazinzizo okuggalwa, ebikolobero byeyongedde obungi mu ggwanga, nga bantu betaaga Omutonzi mu kiseera kino.
Mungeri y’emu agambye nti nga tugenda mu kulonda kwa 2021, eggwanga lyetaaga essaala ku mbeera egenda mu maaso mu ggwanga.
Ate omubaka omukyala owe Mitooma, Jovah Kamateeka agambye nti Uganda erina okulabira ku mawanga omuli Kenya, gye bakkiriza abantu okuddamu okusinza nga tebasukka 100 buli sinzizo ate nga tebasukka ssaawa namba.
Ku nsonga ezo, sipiika Kadaga agambye nti tewali mbeera yonna eyinza kulemesa masinzizo okuddamu okulyowa emitima gy’abantu.
Kadaga agamba nti okusaba okwali e Namugongo mu kujjukira abajjulizi abattibwa olw’eddiini, kiraga nti n’amasinzizo gasobola okuteekawo embeera y’emu.
Ku lwa Gavumenti, amyuka ssaabaminisita asooka Gen. Moses Ali agambye nti Gavumenti yaggala amasinzizo ku lw’okutaasa obulamu bw’abantu era asabye bannaddiini okusigala nga bakakamu ku nsonga y’okubakkiriza okuddamu okung’anya abantu ku nsonga z’okusinza.