Zindzi Mandela, muwala w’omugenzi Nelson Mandela eyali Pulezidenti we South Africa omuddugavu eyasooka afudde enkya ya leero ku myaka 59.
Zindzi abadde mugalanda mu famire era afiiridde mu ddwaaliro lya Johannesburg enkya ya leero.
Wafiiridde, abadde Ambasadda wa South Africa mu ggwanga erya Denmark wabula endwadde emusse ekyali yakyama mu kiseera kino.

Pulezidenti we South Africa Cyril Ramaphosa, agambye nti omugenzi Zindzi abadde mukyala ayagala eggwanga lye era eggwanga lifiiriddwa nnyo.
Zindzi abadde Ambasadda mu Denmark okuva mu 2015.