Poliisi mu Monicipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe ekyanoonya omusajja ali mu myaka 50 kagwensonyi, eyasobezza ku muwala myaka 20 sabiti ewedde, mu kiro ky’olunnaku Olwokutaano.
Omuwala eyasobezaddwako, yasangiddwa mu mmotoka ng’ali mu mbeera mbi ku ssaawa nga 3 ez’ekiro.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa, Hellen Butoto, okunoonyereza kulaga nti akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, omuwala nga mukozi mu Kampuni ya ‘Nytil’, ssaawa za Kafyu zamukwata mu bitundu bye Njeru kwe kuyimiriza emmotoka okumutwalako Bugembe okumpi n’ekibuga kye Jinja.
Wabula omusajja, emmotoka yagivuga agitwala mu ssamba lya bikajjo ku luguudo lwe Kidawalime-Nyenga, Bukaya era yamusobyako ng’asinzira mu mmotoka ye.


Butoto agamba nti omusajja yadduka olw’okutya abatuuze okumuzingako era omuwala, yasaangiddwa ng’ali mu mmotoka ekika kya Harrier namba UBE 249X nga yenna ali mu mbeera mbi.
Butoto agamba nti mu kiseera kino omuwala ali ku bujanjabi nga n’omusajja anoonyezebwa okwewozaako.
Agamba nti olw’okuba Poliisi ekutte emmotoka ye, omusajja wakukwatibwa.

Eddoboozi lya Butoto