Poliisi mu Kampala ekutte omusajja Mutwahilu Bogere Wasswa, ssentebbe ku siteegi y’e Bweyogerere Bukasa mu Ppaaka enkadde ku misango gy’okwagala okwetta.


Bogere myaka 24 alumbye ekitebe kya KCCA mu Kampala ng’akutte akadomola Liita 5 eza petulooli ssaako n’ekibiriiti, okwekumako omuliro olwa KCCA okulemesa Takisi ezimu, okutambuza abantu.


Ku Poliisi, Bogere agamba nti enkola empya y’okuwa Takisi enguudo okutambulirako ekimanyiddwa nga ‘Route chart’, emirimu gyongedde okwesiba.
Mu kiseera kino, ali ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS era aguddwako emisango gy’okwagala okwetta.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, alambuludde ku nsonga eyo.

Eddoboozi lya Onyango