Eyaliko akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti era omubaka omukyala owa Kasese Winnie Kiiza alangiridde nga bwatagenda kuddamu kwesimbawo mu kalulu ka vvaawompitewo 2021.

Okwogera bino ono abadde mulukungaana lwa bannamawulire e Kaseese gyategeezeza nti kye kiseera annyuke eby’obufuzi awe n’abantu abalala omukisa okuweereza abantu.