Eyaliko Meeya w’ekibuga Kampala AL Hajji Nasser Ntege Ssebagala ayabulidde ekibiina kya National Resistance Movement- NRM ne yegatta ku kisinde kya People Power, ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.
Ssebagala yaliko ne mukibiina kya Democratic Party (DP), agamba nti 2021, agenda kwesimbawo ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala mu kisinde kya People Power, okuvuganya Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago era olunnaku olwaleero, azizaayo empapula mu offiisi za People Power e Kamwokya.

Agamba nti okulwanyisa obwavu n’ebbula ly’emirimu mu Kampala n’okusingira ddala mu bavubuka y’emu ku nsonga lwaki akomyewo, okuvuganya ku bwa Loodi Meeya okuleeta obumanyirivu mu kukyusa embeera z’abantu.
Ssebagala myaka 72 yalondebwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu 2012, nga omuwabuzi we ku nsonga ez’enjawulo kyokka mu kiseera kino, agamba nti abadde asuuliddwa ebbali nga bamutwala nga atalina mugaso mu kibiina.
Mungeri y’emu agambye nti okwesiga abantu mu People Power y’emu ku nsonga lwaki avudde mu NRM.
Ssebaggala okugenda mu kisinde kya people Power, kiraga nti ye ne Bobi Wine bamaliridde okuggya Lukwago mu ntebe ya Loodi meeya wa Kampala mu kulonda kwa 2021.