Poliisi y’e Kyengera ekutte omukyala ku misango gy’okwenyigira mu kubba abasajja mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.
Omukyala akwattiddwa ye Judith Atukwase amanyikiddwa nga Elizabeth Amanya.
Okukwattibwa, kidiridde okubba omusajja eyabadde amututte mu makaage wabula mu kiro, nga yeteekateeka okumulambuza ebyalo, kigambibwa Atukwase yamukubye ebintu ebitamanyiddwa nawuunga, ne batwala ebintu byonna eby’omu nnyumba.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango, omukyala Atukwase abadde yenyigira mu kubba abantu omuli abakozi mu Bbanka, bannamateeka, bannamawulire, abasawo ssaako n’abasuubuzi.

Ku Poliisi, Atukwase agambye nti alina akabinja k’abakyala we bakolagana okubba abasajja ng’abamu bannansi ba Nigeria.
Poliisi mu kwekebejja amakaage musangiddwamu Ttiivi za ‘flat screen’ 7, woofer, emifaliso, laptop n’ebintu ebirala.
Onyango agamba nti abasajja bangi ababiddwa ne batya okuddukira Poliisi olw’okutya okuswala nti bagula abakyala okwesanyusa mu nsonga z’omu kisenge wabula okunoonyereza kutandikiddewo.


