Bannamateeka ba Gavumenti abali mu musango gw’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga AIGP Andrew Flex Kaweesi, basabye omulamuzi okutekateeka ebyokwerinda ku bajjulizi abagenda okweyambisibwa mu kkooti, okuwa obujjulizi.

Okusaba kukoleddwa amyuka Ssabawaabi wa Gavumenti Lino Anguzo enkya ya leero, kwe kutegeeza nti basemberedde okufundikira okunoonyereza nga bali mu bitundu 95 ku buli 100.

Okusaba kwa Anguzo, munnamateeka w’oludda oluwawabirwa Anthony Wameri akuwagidde era omulamuzi wa kkooti enkulu ali musango, Duncan Gaswaga, kwe kutegeeza nti omusango ogwongezaayo okutuusa nga 17, August, 2020.

Abavunaanibwa okwenyigira mu kutta Kaweesi kuliko Abdulrashid Mbazira, Aramazan Higenyi, Yusuf Mugerwa, Bruhan Balyejusa, Kyambadde Magezi, Gibriel Kalyango, Yusuf Nyanzi ne Shafik Kasujja.

Kaweesi ayogerwako, yattibwa nga 17, March, 2017 e Kulambiro okumpi n’amakaage n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne ddereeva Godfrey Wambewo nga bonna baakubwa amasasi agaabattirawo.