Poliisi etandiise okunoonyereza abatuuze abatwalidde amateeka mu ngalo ne bakuba omusajja eyabadde ayigibwa ku misango gy’okutta abantu 2 mu disitulikiti y’e Kabale.
John Mugisha yabadde anoonyezebwa ku misango gy’okutta Nnyina omuto Jacinta Birungi akawungeezi olwa Ssande ne Muto we StePhen Twebaze ssaako n’okulumya abantu 2 ng’abalanga okwenyigira mu kubba ettaka lya Famire.

John Mugisha nga bamutwala mu ddwaaliro
John Mugisha nga bamutwala mu ddwaaliro

Mugisha ng’abadde mutuuze ku kyalo Nyamugoma mu ggoombolola y’e Kaharo abadde ayigibwa wabula yasaangiddwa abatuuze ku Mmande nga yekwese mu kibira kye Kaharo era yakubiddwa abatuuze n’okusingira ddala emiggo.
Poliisi weyatuukidde nga Mugisha ali mu mbeera mbi era yatwaliddwa mu ddwaaliro e Kabale gye yafiiridde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Elly Maate
Elly Maate

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti okutwalira amateeka mu ngalo kimenya amateeka era Poliisi etandiise okunoonya abatuuze bonna, abenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo ne bakuba Mugisha, ekyavuddeko okufa kwe.