Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awadde abakkiriza esuubi, bw’asuubiza nti Gavumenti egenda kutandikirawo entekateeka z’okuddamu okuzimba ekkanisa ya St Peter’s mu Ndeeba eyamenyeddwa olw’obutakaanya ku ttaka.

Museveni akedde kulambula ekkanisa, eyamenyeddwa ku ntandikwa ya sabiti eno, ebadde ewangadde emyaka egisukka 40.

Museveni e Ndeeba
Museveni e Ndeeba

Mu kulambula kwe, agambye nti omugagga Dodoviko Mwanje eyakulembeddemu okumenya ekkanisa, afunye ssente mu Kontulakita za Gavumenti ezimuwereddwa omuli n’okuddabiriza emmotoka z’amaggye kyokka bw’aba atandiise okweyambisa ensimbi okunyigirizza abantu, tebayinza kumukkiriza.

Museveni mu ngeri y’emu agambye nti wadde Kkooti ewadde ensala yaayo nga ettaka si lya Kanisa, Gavumenti egenda kuligula okudda wansi w’ekkanisa era amangu ddala ekkanisa egenda kuddamu okuzimbibwa.

Museveni e Ndeeba
Museveni e Ndeeba

Pulezidenti Museveni oluvudde e Ndeeba, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter okutegeeza nti ayingidde mu lutalo era ekkanisa erina okuddamu okuzimbibwa” I passed by the site of St Peter’s Church in Ndeeba that was recently demolished by unscrupulous people. I am saddened by this incident and I give the church assurances that those complicit will be punished. I am going to invite the Namirembe Diocese Bishop, the Rt. Rev. Wilberforce Luwalira, and engage all parties involved in this conflict to find a lasting solution. The bottom line is that the Church will retain this land and we shall build a new church. I have now joined this war“.

Abadde akulembera ekkanisa ya St Peter’s Rev Augustine Kayemba ayogedde naffe era agambye nti ebigambo by’omukulembeze w’eggwanga byongedde okubazaamu esuubi.

Eddoboozi lya Kayemba