Poliisi e Nabingo ekutte omusajja ku misango gy’okubba pikipiki n’okuzitunda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Henry Bujunju nga mutuuze we Nansana yakwattiddwa ku by’okubba Pikipiki ya Stephen Ssembalirwa akawungeezi k’olunnaku Olwakusatu nga 12, August, 2020.
Poliisi egamba nti yasobodde okweyambisa kamera za CCTV okuzuula Bujunju era Pikipiki yasangiddwa nga yakagiteeka mu Galagi e Kawala mu Divizoni y’e Rubaga.
Ku Poliisi, Bujunju akirizza okwenyigira mu kubba Pikipiki mu Kampala n’okuzitunda e Masaka ne Nyendo.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Poliisi etandiise okunoonya abantu bonna abaludde nga benyigira mu kugula Pikipiki enzibe.