Kyaddaki UPDF ebikudde ekyama, lwaki aba LDU bakomezeddwawo mu kiseera kino, okuddamu okutambuza emirimu nga bakola ebikwekweeto obudde bw’ekiro.

Aba LDU si baakuddamu kutambula misana, nga balina kutambula kiro, okuyambako Poliisi ku y’okuuma abantu n’ebintu byabwe.

Ebikwekweeto byazzeemu sabiti ewedde, oluvanyuma lw’okuddamu okutendekebwa ku nkambi y’amaggye e Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kati no amyuka omwogezi w’amaggye ga UPDF, Lt Col. Deo Akiki agambye nti aba LDU bagenda kuyambako mu kulwanyisa ababbi, abaludde nga bazzeemu okutigomya abantu mu ssaawa za Kafyu.

Mungeri y’emu agambye nti oluvanyuma lw’okuddamu okutambuza emirimu, waliwo ababbi abakwattiddwa mu budde bw’ekiro.

Eddoboozi lya Akiki