Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde atwalira sipiika wa Palamenti omutwe gw’omuntu.

Omusajja akwattiddwa ye Nuwashaba Joseph myaka 23 nga mutuuze we Bushenyi, nga bamukwattidde ku geeti ya Palamenti okumpi ne National Theatre ng’omutwe, guzingiddwa mu kaveera kakiragala ne guteekebwa mu bokisi.

Omusajja n'omutwe
Omusajja n’omutwe

Omusajja mukwattibwa, agambye nti abadde akedde kutwalira sipiika ekirabo wabula olukwattiddwa, ateekeddwako mu kaduukulu ka Palamenti, oluvanyuma atwaliddwa ku kitebe kya CID e Kibuli.

Omusajja akwattiddwa
Omusajja akwattiddwa

Omu ku basirikale ku Palamenti agaanye okwatuukiriza amaanya ge, agambye nti omutwe gubadde gw’amwana muto era omusajja abadde ayambadde bulungi ddala ssaako n’okwambala masiki, okubika ffeesi.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti kituufu okusajja akwattiddwa era Poliisi etandiise okunoonyereza.

Omukyala omulala akwattiddwa
Omukyala omulala akwattiddwa

Wabula okusinzira ku musasi waffe, omusajja abadde n’omukyala omulala era n’omukyala akwattiddwa.