Kyaddaki Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga asabye ekitongole kya Poliisi okunoonyereza mu bwangu ku musajja eyakwattiddwa, emisana g’olunnaku olw’eggulo ku Mmande, n’omutwe gw’omwana omuto ku Palamenti.

Omusajja Nuwashaba Joseph myaka 23 nga mutuuze we Bushenyi, baamukwattidde ku geeti ya Palamenti okumpi ne National Theatre ng’omutwe, guzingiddwa mu kaveera kakiragala ne guteekebwa mu bokisi.

Mu kwewozaako, yagambye nti yabadde atwalira sipiika ekirabo wabula olwakwattiddwa, yatwaliddwa ku kitebe kya CID e Kibuli.

Kigambibwa, omutwe yaguggye ku kyalo Kijabwemi mu ggoombolola y’e Kimanya Kyabukuza mu kibuga kye Masaka, oluvanyuma lw’abatuuze okuzuula omwana Faith Kyamagero myaka 3 nga yatemeddwako omutwe n’okusalwako ebitundu by’ekyama.

Nuwashaba yabadde omu ku bantu, Taata w’omwana Charles Ssenyonga beyasembeza okuyamba mu kiseera kino ky’omuggalo gw’okulwanyisa Covid-19.

Wabula mu Palamenti akawungeezi ka leero, sipiika asabye ekitongole kya Poliisi okwanguyiriza okunoonyereza, okutegeeza eggwanga ku ttemu eryakoleddwa n’ekigendererwa eky’omusajja eyabadde amutwalidde omutwe.

Eddoboozi lya Kadaga