Poliisi etandiise okunoonyereza ekivudde omuliro ku Ssundiro ly’amafuta erya Moka e Kitala ku luguudo lwe Garuga.
Omu ku bakozi ku Moka agambye nti omuliro gutandiise ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi era agamba nti omu ku mukozi munaabwe abadde alina ebidomola byatekamu Petulooli okutwalibwa ku kiziga nga beyambisa emmotoka ekika kya “Canter” era tebategedde kivuddeko omuliro.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti tewali muntu yenna afudde wadde alumiziddwa wabula Poliisi etandiise okunoonyereza ekivuddeko omuliro.

Eddoboozi lya Luke