Omuyimbi Sadat Mukiibi amanyikiddwa nga Khalifa Aganaga kyaddaki avudde mu National Unity Platform (NUP) butongole ne yegatta ku National Resistance Movement (NRM).

Enkya ya leero, Khalifa akedde ku biteekamu ngatto, okulumba ekitebe kya NRM e Kyadondo era ayaniriziddwa Ssabakunzi w’ekibiina Mathius Kasamba.

Khalifa agamba nti okunoonya embeera ennungi n’okufuna ekibiina ekinamuwa emirembe ssaako ne ku nsimbi, y’emu ku nsonga lwaki avudde NUP, okwegata ku NRM okugiwagira mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Agamba nti alina essuubi okutandikawo ekibiina kye eky’obyobufuzi, okuzimba Kalina okusinga Dr.Jose Chameleon ne Bobi Wine okugamba nti Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni musajja mubi nnyo aggwanidde okuva mu bukulembeze bw’eggwanga ate nga bo basajja bagagga.

Eddoboozi lya Khalifa