Oluvanyuma lwa Poliisi okukwata abantu 22 omuli abakyala n’abasajja okuva ku kabaga k’okuvuganya mu kusinda omukwano e Kireka mu Monicipaali y’e Kira, nate tukuletedde vidiyo eraga ebyabaddewo nga Poliisi tennabakwata.


Vidiyo eraga nti abawala baludde nga bavuganya mu kaboozi kuba omu ku bo agamba nti ku mulundi guno, abawala bangi ssaako n’abasajja era bagenda kunyumirwa nnyo, ekiraga nti baludde nga bakikola.

Mungeri y’emu abawala balaga nti bali mu kwetekateeka nga besuunga waaya okufuna ku ssanyu mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Kira ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19 n’okumenya amateeka ne bakungaana.
Owoyesigyire agamba nti abakwate olunnaku olw’enkya ku Mmande bakutwalibwa mu kkooti.

Vidiyo