Kyaddaki Poliisi eyogedde omuwendo gw’abantu abaakwattiddwa, mu kikwekweeto ekyakoleddwa ku bantu abegumbulidde okutunga n’okutunda engoye, ez’efaananyirizaako ez’ebitongole ebikuuma ddembe.

Mu Kampala, ekikwekweeto kyakoleddwa ebitongole ebikuume ddembe omuli Poliisi, amaggye nga begattiddwako aba LDU olunnaku olw’eggulo e Makindye, Kawempe, Mulago, mu Kiyembe wakati mu Kampala ne ku kitebe kya NUP e Kamwokya.

Mu kwogerako eri bannamawulire, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga yagambye nti, abantu okweyongera okwambala ebyambalo, ebyefananyirizaako eby’ebitongole ebikuuma ddembe omuli engatto, ovulo, engoye, obukofiira y’emu ku nsonga lwaki ekikwekweeto kyakoleddwa.

Mungeri y’emu yagambye nti abantu okwambala mu ngeri bwetyo, kiyinza okuwa omukisa abantu abakyamu okwenyigira mu kumenya amateeka olwa bannansi abamu, okulowooza nti abantu abo, basibuka mu kitongole kikuuma ddembe.

Kati no, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agambye nti mu kikwekweeto, abantu 82 baakwattiddwa era bali ku misango omuli okusangibwa n’ebintu ebyefanaanyirizaako ebya Gavumenti.

Onyango agamba nti essaawa yonna, abakwate bakutwalibwa mu kkooti.