Kyaddaki Gavumenti evuddeyo ku by’okufa kwa Col Shaban Bantariza abadde munnakibiina kya NRM ate abadde munnamaggye eyaganyuka.

Col. Bantariza akutukidde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago enkya ya leero oluvanyuma lw’okutwalibwayo, akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande.

Okusinzira ku mwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo, Col. Bantariza afudde Covid-19.

Ofwono agamba nti Bantariza, okuva sabiti ewedde abadde alumizibwa mu kifuba, Puleesa, sukaali, ekifuba era ku Lwokutaano, bamutwala mu ddwaaliro ly’amaggye e Mbuya.

Mu ddwaaliro e Mbuya bamugyeyo ng’embeera eyongedde okubiggya ne bamutwala ku Victoria gye baamuggye okumutwala mu ddwaaliro e Mulago gy’afiiridde.

Col Bantariza yakulembeere ettendekero lya Kyankwazi okuva mu 2007-2009 wabula mu mwaka gwa 2011 Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni n’amuwummuza.

Col Bantariza yazaalibwa mu 1963 mu disitulikiti y’e Mitooma era afiiridde ku myaka 57.

Yaliko omwezi w’amaggye okuva 2000 okutuusa 2006.

Mu gwomukaaga 2013, yalondebwa okumyuka direkita wa Uganda Media Centre ate nga 28, September, 2015 mu butongole yawumula amaggye.

Gyebuvuddeko Bantariza yawumula eky’okumyuka omwogezi wa Gavumenti okuvuganya ku bwa ssentebbe wa NRM ebugwanjuba kyokka oluvanyuma yava mu lwokaano.