Kyaddaki akakiiko k’ebyokulonda kakirizza emikono gya bannakibiina kya NUP egy’omuntu waabwe, agenda okwesimbawo ku ky’obukulembeze bw’eggwanga lino.
Robert Kyagulanyi Ssentamu, yakulembeddemu NUP mu kulonda okubindabinda okwa 2021, era balinze sabiti ejja ku Lwokubiri, okuwandiisa omuntu waabwe.
Kyagulanyi Ssentamu yegasse ku bantu 9, abakakasiddwa akakiiko k’ebyokulonda oluvanyuma lw’okufuna emikono 100, 100 okuva mu disitulikiti 98 ez’abantu, abagamba nti bagwanidde okwesimbawo ne basembebwa.
Okusinzira ku sseemateeka wa Uganda, omuntu yenna okwesimbawo, alina okunoonya emikono ebitundu 3 bya 4 egy’abantu abamusemba.
Abamu kw’abo abalinze okwewandiisa kuliko ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, Fred Mwesigye, Henry Tumukunde, Joseph Kabuleta, omukyala Kalembe Nancy Linda nga bonna bayindipendenti ssaako n’abalala.
