Col. Shaban Bantariza abadde amyuka omwogezi wa Gavumenti aziikiddwa olunaku olwaleero ku kyalo Kagorogoro, mu Disitulikiti y’e Mitooma.
Col. Bantariza eyawumula amaggye mu 2015 bamukubidde emizinga 24 okumuwa ebitiibwa by’ekitongole ky’amaggye ebijjuvu.

Yafudde Covid-19 mu ddwaaliro ekkulu e Mulago nga busasaana ku lunnaku Olwokubiri era okuziikibwa, bagoberedde amateeka wakati mu kulwanyisa Covid-19 omuli okwambala masiki, okwewa amabanga n’okuleeta abakugu abatendekebwa okuziika abafudde Covid-19.
Okuziika kwetabiddwako abantu batono ddala omuli aba famire, abamu ku batuuze ssaako n’abakulu mu Gavumenti.
Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo agambye nti Bantariza aziikiddwa mu kitiibwa olw’emirimu gy’akoleddwa eggwanga era okufa kwe kulese eddibu ddene mu Gavumenti ya NRM.