Wadde bangi ku bannakibiina kya NUP bali mu maziga oluvanyuma lw’okukubwa ttiyaggasi, Ssegirinya Muhammad y’omu ku bannakibiina abali mu maziga mu kiseera kino.
Poliisi esobodde okweyambisa ttiyaggasi okugumbulula abawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bw’abadde agenda okwewandiisa e Kyambogo okuvuganya ku bukulembeze bwe ggwanga lino.
Ku bawagizi ba Bobi Wine abakubiddwa ttiyaggasi, Ssegirinya asigadde mu maziga kuba ttiyaggasi amukubiddwa mu maaso era akulukuse amaziga olw’embeera.

Ssegirinya olw’embeera gy’alimu, ttiyaggasi amulese azimbye amaaso.