Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), asabye Bannayuganda okweyambisa okulonda kwa 2021, okusalawo ani alina okulembera eggwanga lyabwe okulitwala mu maaso.
Bobi Wine olunnaku olw’eggulo yawandisiddwa akakiiko k’ebyokulonda okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga.
Wabula bwe yabadde ayogerako eri abawagizi be akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri mu makaage e Magere, Bobi Wine yagambye nti kino kye kiseera bannayuganda okusalawo ku ggwanga lyabwe nga balonda abakulembeze baabwe.
Bobi Wine yagambye nti bannayuganda bebalina obuyinza okusalawo ku muntu alina okutwala eggwanga mu maaso oba okusigala mu mbeera gye balimu.
Mungeri y’emu yasabye Bannayuganda okuvaayo ku mulundi guno okwenyigira mu kulonda kuba guno gwe mukisa gwokka gwe balina okukyusa obuyinza mu ggwanga.
Bobi Wine okuwangula obwa Pulezidenti bwa Uganda, alina okumegga abantu 10 omuli ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni, Munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Patrick Obio Amuriat, Democratic Party (DP) Norbert Mao, Alliance for National Transformation (ANT) Mugisha Muntu.
Abalala abazze nga bayindipendenti kuliko Mayambala Willy, John Katumba myaka 24, Lt. Gen. Henry Tumukunde, Mwesigye Fred, Kabuleeta Kiiza Joseph n’omukyala omu yekka Kalembe Nancy Linda.
Eddoboozi lya Bobi Wine