Abalokole abasabira mu kkanisa ya Revival Christian Church Kawaala basanyufu olw’omugenzi Pasita Augustine Yiga okuleka ekiraamo ekirungi.
Yiga yaziikiddwa sabiti ewedde ku Ssande nga 1, November, 2020 ku kkanisa e Kawaala wakati mu nnamungi w’omuntu.
Wabula okusinzira ku kiraamo ekyawandikibwa nga 26, August, 2020, Pasita Yiga yalaama mutabani we Andrew Jjengo okumusikira.
Mu kiraamo, yategeeza nti wadde ekkanisa erina abasumba eb’enjawulo, Pasita Jjengo ye musumba omukulu mu kkanisa ya Revival Christian Church.
Mu kiraamo era yasaba famire, abaana n’abagoberezi mu kkanisa okusigala obumu ssaako n’okusaba abakozi ku ttiivi (ABS TV) okusigala nga bakola bulungi.