Kyaddaki akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde nga 14, January, 2021, bannayuganda okulonda omukulembeze w’eggwanga lino.
Olunnaku olw,eggulo, akakiiko kafundikidde okuwandiisa abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga era mu nnaku 2, abantu 11 basunsuddwa.
Abasunsuddwa kuliko munnakibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni, FDC Patrick Obio Amuriat, NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Democratic Party (DP) Norbert Mao, Alliance for National Transformation (ANT) Mugisha Muntu.
Ate abasunsuddwa nga bayindipendenti kuliko Mayambala Willy, John Katumba myaka 24, Henry Tumukunde, Mwesigye Fred, Kabuleeta Kiiza Joseph n’omukyala omu yekka Kalembe Nancy Linda.
Wabula omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Paul Bukenya agambye nti nga 14, January, 2021, omukulembeze w’eggwanga lw’agenda okulondebwa ku lunnaku lwe lumu, abakiise ba Palamenti lwe bagenda okubalonda.
Kampeyini zakutandiika sabiti ejja ku Mmande nga 9 omwezi guno ogwa November.