Ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye balumbye offiisi za National Unity Platform (NUP) mu disitulikiti y’e Moroto.

Okusinzira ku musasi waffe mu bitundu bye Moroto, tewali nsonga yonna emanyikiddwa lwaki offiisi zirumbiddwa.
Kigambibwa ebimu ku bipande by’abantu abesimbyewo mu kibiina kya NUP bitwaliddwa, okutimbululwa n’okuyuzibwa.

Poliisi tennavaayo ku nsonga y’okulumba offiisi za NUP wabula abamu ku bannakibiina kya NUP e Moroto bali mu maziga nga bagamba nti bakooye ebitongole ebikuuma ddembe okutyoboola eddembe lyabwe.

Okulumba offiisi kukulembeddwamu adduumira Poliisi mu kitundu ekyo Jude Nasucha wakati w’essaawa 12 ez’okumakya n’essaawa 3.
Mu kikwekweeto Andrew Angulo, akulira ebyokulonda mu kitundu ekyo akwattiddwa era atwaliddwa ku Poliisi y’e Moroto ku misango egitamanyiddwa.

Ekifaananyi kya NBS