Poliisi ekirizza Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Sentamu Kyagulanyi (Bobi Wine) okutoongoza Manifesito ye, mu kisaawe kye Kakyeeka olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga.

Entekateeka zagiddwa ku kitebe kya NUP e Kamwokya ne balangirira okuzitwala e Mbarara, era Poliisi ebakkiriza okuziteeka mu kisaawe e Kakyeeka wabula nga balina okuteeka mu nkola engeri zonna ez’okulwanyisa Covid-19.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi Samson Kasasira, mu nteseganya wakati wa Poliisi ne bannakibiina kya NUP, bakaanyizza okuggya omukolo ku offiisi zaabwe wakati mu kibuga kye Mbarara nga kiyinza okutataganya emirimu gy’abantu era ebitongole ebikuuma ddembe, byongedde amaanyi mu kunyweza ebyokwerinda.

Wabula Jolly Mugisha omukwanaganya wa NUP e Mbarara agamba nti wadde bakiriziddwa, bakyali mu nteseganya ez’okubongera abantu okusukka mu 70.

Mungeri y’emu agambye nti omuntu eyegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino kiswaza okuba olukungana ku bantu 70 bokka mu kisaawe ekiramba.

Eddoboozi lya Jolly