Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alagidde abantu bonna abeseenza ku ttaka ly’amaggye okulyamuka nga tebannaba kusengulwako.

Museveni agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe, birina okweyambisa abakugu abali mu kitongole kyabwe okuzimba amayumba ku ttaka lyabwe, okulongoosa ensula, okwongera ku byokwerinda okusinga okusula ebweru n’okutangira abantu abayinza okwesenza ku ttaka lyabwe.

Okubyogera, abadde akulembeddemu okutongoza ekitebe ekipya kya ky’eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya Special Forces Command (SFC) ekituumiddwa General Yoweri Museveni House.

Museveni agamba nti aba SFC okuzimba ekitebe kyabwe, basobodde okusasaanya biriyoni 3 n’obukadde 480 (3.48b) okuva ku biriyoni 9 ezaali zisabiddwa ba kontulakita.