Bannabyabufuzi mu ggwanga erya America bavumiridde ekya Donald Trump myaka 74 okugaana okukkirizza nti yawanguddwa mu kulonda kwa America.

Trump awanguddwa Joe Biden myaka 78 kyokka ebivudde mu kulonda ekyagaanye okubikkiriza era agamba nti yabiddwa nga balina okuddamu okubala obululu mu bitundu ebimu.

Trump asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter era agambye nti, “the observers were not allowed into the counting rooms. i won the election, got 71,000,000 legal votes. bad things happened which our observers were not allowed to see. never happened before. millions of mail-in ballots were sent to people who never asked for them!”.

Wabula Bannabyabufuzi bagamba nti Trump okugaana okukkiriza nti yawanguddwa, aswazizza ekitiibwa kya America n’okuba ebituli mu demokulasiya wa America gwe demokulasiya emyaka egisukka mu 200.

Lwaki Trump wakusigala mu ntebe y’obwa Pulezidenti?

Emisango Trump gye yatutte mu kkooti bwe giwulirwa ne gitasalibwawo mu bwangu kiyinza okumuwa enkizo mu kkooti ey’oku Ntikko engeri gy’ejjuddeko abalamuzi abagwa ku luuyi lwa ba Republicans kw’ali.

Okusinzira ku byafaayo bya America, guno si gwe mulundi ogusoose akalulu okubeerako enkalu, mu 2000 nga George Bush attunka ne Al Gore kyatwala ennaku 37 nga tebannaba kulangirira muwanguzi era ensonga zatwalibwa mu kkooti olwo Bush n’alangirirwa mu December wa 2020.

Trump bwe yabadde ayogera eri eggwanga, yagambye nti okucanga obululu kirina ebbala kye litadde ku dimokulasiya  wa Amerika okulaga nti akalulu tekali ku mazima na bwenkanya.

Mu kkooti, amasaza asatu okuli: Michigan, Michigan , Pennsylvania ne Georgia ayagala baddemu okubala obululu.

Okulonda kuno okw’ebyafaayo kwetabiddwaamu abalonzi abasukka mu bukadde 160 era wadde okubala obululu kukyagenda mu maaso, Biden yafuna obululu 75,196,516 nga bwe bululu 290 mu ‘Electoral vote’ ate Trump 70,803,881 nga mu ‘Electoral vote’ 214. Mu America omuntu yenna okuwangula obukulembeze bw’eggwanga, alina okufuna obululu 270 mu ‘Electoral vote’.

Wabula Biden oluvanyuma lw’okuwangula obukulembeze bwa America, agambye nti bannansi balonze omukulembeze agenda okugatta abantu bonna, okubulula ebyenfuna by’eggwanga, okulwanyisa obusosoze mu langi, okutondawo emirimu, okulwanyisa endwadde nga Covid-19 n’ensonga endala.

Biden kati ye mukulembeze wa America ow’e 46.